Naalinya Edisa Nabweteme.

Bya

Prince Wasajja James (2012)

Naalinya Nabweteme

Naalinya Nabweteme

Nnaalinya Edisa Manjeri Kiyumba Nabweteme. Yazaalibwa nga 19/December/1920. Muwala wa Ssekabaka Daudi Chwa II n’Omuzaana Nalule eyeddira Engeye. Yabatizibwa nga 9/January/1922 mu Kkanisa Lutikko e Namirembe.

Nnaalinnya Nabweteme yasomera Gayaza High School. Mu bulamu bwe, Nnaalinnya yazaala abaana bataano;

1)     Winnie Edebe

2)     Fredrick ssemazzi

3)     Florence Namayanja Luyombya

4)     Christine Nabibubbu

5)     Agnes Namitala

Alese abazzukulu 14 era mu makaage e Mutundwe abadde akuumibwa omuko w’Embuga Hannington Kasoma Zaake gwe bamaze naye emyaka egisukka mu 50.

Nnaalinya Nabweteme abadde amanyiddwa ng’omuntu ayagala ennyo amazima era alemera ku nsonga kasita amanya nti ntuufu.

Abadde mpagi luwaga mu nnyumba ya Ssekabaka Daudi Chwa olwokuluhhamyanga ku nsonga eziba zibuusibwabuusibwa. Yasikira obwannaalinya bwe yasikira Jjajjawe Nnaalinya Dina Kigga eyali muwala wa Ssekabaka Muteesa I, olwo n’afuuka Nnaalinya wa Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje.

Mu mwaka 2007, Nnaalinya yayatula n’alokoka era ebbanga lyonna abadde asabira mu kkanisa ya Prayer palace e kibuye.

Olumbe olutututteko Nnaalinnya luvudde ku musaayi  ogwalegamye mu mawuggwe ge.

Tusaba Omukama katonda amuwe ekiwummulo ekyemirembe.

AMAWULIRE G’OKUSERERA.

Amawulire g’okuserera kwa Nnaalinya Edisa Nabweteme gatandika okuwulirwa ku lw’okutaano nga 27/July/2012, ku ssaawa ssatu ez’okumakya.

Nnaalinya yaseerera ku makya okwo ng’ali ne muzzukulu we, Kiweeweesi, Nnassuuna Halima mu International Hospital Kampala. Nnassuuna yakola ekisoboka kyonna okutegeeza abo ababadde batera okulambula omulwadde, n’okubeera ne Nnaalinya omwali, bamuleekwa n’abamu ku balangira omuli n’omulangira Kiggala David, abadde mukwano gwa Nnaalinya ennyo.

Enteekateeka z’okujja omubiri gwa Nnalinya mu IHK zaali zirina okukolebwa mu bwangu era  ssente ezasabibwa zaali akakadde kalamba.  Mu kaseera ako kenyini, Omulangira Namugala ne Lubuga Nandawula baatuuka mu ddwaliro okulaba embeera bwe yali.

Yali mwami Lubega (mukwano gw’omugenzi) eyasasula sente z’eddwaliro okyasobozesa Omubiri gwa Nnaalinya okutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

 

OLUKIIKO E KABOWA.

Abalangira abatonotono baatuula ew’omulangira omukulu mu nnyumba ya Ssekabaka Daudi Chwa II,  wamu ne Ssaabalangira.

Olukiiko luno lwateesa ebintu ebiwerako omwali n’okuwa obuvunaanyizibwa abalangira ab’enjawulo okutambuza emikolo.

OLUKIIKO E MUTUNDWE.

Ab’enju y’omuko, Hannington Kasoma Zaake nabo baatuuza olukiiko nga nabo basala entotto ku ngeri y’okutambuzaamu emikolo. Ensonga zaabwe enkulu zaali nnyo ku kubeerawo kwa bamulekwa, ng’ekiseera ekyo abasinga baali bakyali ku manga. Mulekwa omu yekka, Nnaava Florence Namayanga Luyombya ye yaliwo akaseera ako.

Baakizuula nti enteekateeka zonna zaali zeetaaga ensimbi nnyingi ddala era olwo ne basala entotto okufuna ssente ezo. Ekiteeso ekyasooka okuyita kwe kuteegeza emikwaano gya Nnaalinya omwali n’omukulembeze w’eggwanga.

Obubaka bwatekebwateekebwa era ne butwalibwa mu ‘State House’ eyo era gye basobola okujja obuyambi abwatandika okutambuza emikolo.

 

OLUMBE.

Abantu ab’enjawulo baatandika okweyiwa mu maka g’omugenzi okukubagiza bamulekwa wamu n’omuko w’Embuga, Zaake.

 

PROGRAM Y’OKUZIIKA.

Enteekateeka y’okutereka Nnaalinya yatandiika okukolebwa wakati w’okwebuza ku njuyi zombi. Ababaka baatumibwa eri Omulangira Omukulu, Alexander David Ssimbwa okumubikira mu butongole era mu bano mwe mwali n’omulangira Kiggala David abadde akolagana obulungi n’abakulu bano ababiri. Abalangira n’abambejja ab’enjawulo abalala beegatta ku ba mulekwa  okutambuza enteekateeka.

Omulangira Robert Mukuma  yakuleemberamu  banne okugenda okubikira ba Ssekabaka b’omu Busiro era ng’ono yayambibwako ne Nnaalinya Zalwango ow’e Bugembegembe. Omulangira Mukuma era eyakulemberamu kaweefube w’okulongoosa embuga y’e Kasengejje nga kimaze okutegerekeka nti wajja  kubeerayo emikolo egimu.

Omulangira David Walugembe Bamweyana yakulemberamu enteekateeka z’e Kasubi mu Masiro ewaali ow’okuterekebwa Nnaalinya ayali aseeredde. Yayambibwako ne Katikkiro Kaggwa ow’e Kasubi.

Omulangira James Wasajja ye yakunganya era n’awandiika ebyafaayo bya Nnaalinya wamu n’okubaga enteekateeka y’okusabira omwoyo gw’omugenzi. Yayambibwako Omulangira Ggoloba Muwenda. Omulangira Wasajja yasabibwa akulembere enteekateeka zonna (Master of Ceremonies) okutuuka nga Nnaalinya amaze okuterekebwa.

Omutaka Kasujju Lubinga, Nnaalinya Zalwango ow’e Bugembegembe wamu ne Lubuga w’e Kyebando n’e Mubango be baasabibwa okukulemberamu omukolo gw’okumusika.

Omulangira David Kiggala (omu ku balangira abatono ennyo abaali mikwano gya Nnaalinya) ye yali akwanaganya enteekateeka zonna ez’enjuyi zombi. Ekyo kyajjawo kubanga yali amanyidwa bulungi ku ludda lw’Abalangira ate ne ku lwa bamulekwa.

Olwokuba nti abakungubazi beeyiwanga mu maka ga Nnaalinya e Mutundwe okuva lwe  yaseera ku Lwokutaano okutuusa lwe yatwalibwa mu kkanisa ku lwa Bbalaza. Bamulekwa baakulemeberamu enteekateeka okulaba nti awaka wateekebwateekebwa bulungi era nga waliwo n’ebyokulya ebimala.

Ku ludda olwo baali bakulemberwamu Nnaava Florence Namayanja Luyombya, bakiweeweesi; okuli Racheal Nabatanzi , Nassuuna Halima ne Kiweeweesi Ibra. Omuko Dr. Jack Luyombya naye yawabulanga bwe yalinga atuukiriddwa.

 

OLUKIIKO OLWAWAMU E MUTUNDWE

Ku Sunday nga 29, July, omubiri gwa Nnaalinya gwatuusibwa mu makaage e Mutundwe ku ssaawa 9:34 ez’olweggulo. Abakungubazi ab’enjawulo bajja okukuba eriso evvannyuma ku Nnaalinnya eyali awummudde.

Essaawa bwe zaali zikunukkiraza okuwera ekkumineemu, Abalangira n’Abambejja nga bakulemberwamu Omulangira Omukulu David Ssimbwa nabo baatuuka e Mutundwe. Olukiiko lwatandikirawo era nga luno mwalimu Abalangira n’Abambejja wamu ne bannaalinnya. Lwakubirizibwa Omulangira Ssimbwa ng’ayambibwako Omulangira David Namugala n’omulangira James Nakibinge. Abamu ku balala abaalimu ye; Mulangira James Jjunju, Lubuga Gladys Nandawula, Mulangira Kimera Luswata, Mulangira James Wasajja, Nnaava Florence Namayanja ne Ssaava Fredrick Ssemazzi, eyatweyunga oluvannyuma nga yaakatuuka okuva mu America gy’abeera.

 

EBYATEESEBWAKO

Abakulu mu nnyumba ya Ssekabaka Daudi Chwa II baali bazze okumanyisibwa ku nteeketeeka nga bwe ziyimiridde, okuva omubiri gwa Nnaalinya bwe gwali guggyiddwayo mu ddwaliro. Bannyonnyola nti enteekateeka ezimu enkulu zaali zibusiddwa amaaso, omwali n’ekikolwa ky’Omuko okugenda mu butongole okubikira eb’enju ya Ssekabaka Daudi Chwa II.

Mu kuteesa ku byali byogeddwa abalangira, muwala w’omugenzi Nnaava Florence Namayanja yategeeza olukiiko nti ye nga mulekwa eyali aliwo mu kadde akazibu ako (nga banne bonna babeera ku mawanga) yali akyali mu kyekango kyokuviibwako nnyina. Bwatyo yatuuma Omulangira Kiggala David agende abikire Omulangira Ssimbwa kubanga ye (Naava) yalabaanga omugenzi ng’atuma Kiggala ku nsonga enkulu eri Omulangira.

Wabula Naava yasaba bakadde bamusonyiwe bwe wabaawo ekyali kisobye mu nteekateeka kubanga naye alina bingi byatamanyi naddala ebikwata ku bulombolombo. Yayongera okuteegeeza olukiiko nti omuko (bba w’omugenzi) naye yali mu mbeera nzibu nnyo ey’obulamu bwe nga yeeraliikiriza. Bwatyo yali tasobola kutuukiriza egimu ku misoso egyali gye taagibwa mu kadde ako.

Abalangira baasaba okumanya abaali bakoze ku ky’okubikira State House era baategeezebwa nti mulekwa yakwatagana nabo Nnaalinnya bwe yatumangayo, ne batuusa obubaka obubika eri President. Wabula abalangira beemulugunyamu nti waliwo abatandise okugenda mu State House mu linnya ly’enju ya Ssekabaka Daudi Chwa ng’Abalangira abakulu tebamanyi.

Wabula ku nsonga eno kyazulibwa nti bamulekwa be baali baweerezza obubaka obutongole eri President, mukwano gwa nnyaabwe (Omugenzi).

 

OKUSSAAKO OMUSIKA

Wadde nga waliwo erinnya ly’Omumbejja eryali lyogerwa okuviira ddala nga Nnaalinnya yakawummula, era eyali amanyiddwa ennyo mu by’okujjanjjaba omugenzi, olukiiko lwasaba lukakasibwe ku ani yali agenda okusikira Nnaalinya. Wano omukiise omu yalambulula nti oluusi wabeerawo okusalawo okwawula mu busika; ne wabeerawo asikira omusaayi ate n’asikira obwannaalinya.

Ng’okuteesa kugenda mu maaso, omuko Dr. Jack Luyomnya yasaba akube akaama Omulangira Ssimbwa ku nsonga y’obusika nga bwe yawulira okuva ew’omugenzi. Wano olukiiko lwayimiriramu era omuko, wamu ne mulekwa Nnaava Florence Luyombya, Omulangira Ssimbwa n’omulamngira Namugala baafulumamu wabweru, ne beegeyaamu.

Oluvanyuma nga bakomyewo, kyalangirirwa nti obusika bw’obwannaaalinnya bwali buweereddwa Omumbejja Zalwango Lubega (Owa Mawanda e Salama). Ku ky’omusika okuba era ow’omusaayi, ekyo kyali kya kwebuuza ku bamulekwa oluvannyuma. Omulangira Ssimbwa yasaba olukiiko lufundikirwe kisobozese bannaalinnya nabo okuteesa ku nteekateeka eziddako.

 

Ebyasalibwawo mu lukiiko lwa bannaalinnya

Bannaalinnya baasalawo nti abaali balondweddwa okukulembeeramu emikolo gy’okubikka akabugo baali batuufu era munno mwe mwali; Naalinnya Nayimbabuna, Lubuga w’e Kyebando ne Lubuga w’e Mubango.

Baateesa nti Omutaka Kasujju Lubinga ku luno abeerewo, twewale ebyaliwo mu kubikka akabugo ku Nnaalinnya Nakabiri e Kasubi ebbanga eritali ly’ewala.

Omukolo gw’okubikka akabugo gwali gwa kukolebwa mu mbuga ya Jjunju e Kasubi oluvannyuma omusika atwalibwe ewa Kikome.

Entaputa y’okusalawo kwa bannaalinnya

Mu kwebuuza okwakoleddwa abaali ab’okukola omukolo gw’obusika baazuula ensonga zino nga nkulu okwetegereza;

a)     Nnaalinnya Nabweteme yali Nnaalannyi wa Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje. Ssekabaka Kamaanya ye yali azaala Ssekabaka Ssuuna e Wamala ng’oyo y’azaala Ssekabaka Muteesa I e Kasubi Nabulagala.

Mu nnonno entuufu Nnaalinya wa Ssekabaka Kamaanya  tasobola kukolebwako mikolo mu mbuga yamuzzukulu we!

b)     Obwannaalinnya omusika bw’atwala bwa Ssekabaka Kamaanya, sso si bwa ba Ssekabaka Muteesa I, Mwanga II, Chwa II oba Muteesa II, nti Naalinya alina kubasanga Kasubi. Wabula obwannaalinnya obusikirwa bwa Kamaanya e Kasengejje.

c)      Amasiro ga Kamaanya e Kasengejje ssi wala nnyo, nti obolyawo kyali kya kugotaanya enteekateeka y’okuziika e Kasubi.

d)     Embeera y’amasiro g’e Kasubi mu kaseera kano ssi nnongoofu kukolerayo mikolo gya nnonno. Amasiro gakyali mu muyonga nga ne ba Ssekabaka tebawumudde ntende!.

Bannaalinya abasing obungi, naddala abaazaalibwa okuva mu bassekabaka abaterekebwa e Kasubi, bazze bakola omukolo gw’okubikka akabugo mu masiro e Kasubi ate oluvanyuma ne batwalibwa mu mbuga zaabwe oz’obwannaalinya. Kino kituufu naye si kya nnonno!

Okuva Obuganda lwe bwatabanguka mu myaka gy’enkaaga, emikolo mingi egyennonno gyakyusibwakyusibwa olwembeera. Kyafuuka kizibu okutambuza emikolo nga bwe kyandikoleddwa olwo ebisinga ne bitandika okukolebwa e Kasubi.

Kizuuliddwa nti olwenkola, amasiro mangi gasaanyeewo olwokuba bannaalinnya bwe bamala okusikira e Kasubi ate nga baakuzikibwa Kasubi, tebafaayo kukulakuulanya mbuga ze basikidde. Bangi kubo bazitunze!

 

Mu Kkanisa Lutikko e Namirembe

Bannaalinnya, Abalangira n’Abambejja, bannaava ne bassaava, bakiweeweesi, abakungu b’e Mengo, Abako n’abemikwano bangi beeyiwa e Namirembe okuwerekera Nnaalinya mu kusaba okwenjawulo. Abaamu ku bakungubazi mwe mwali; Omulangira Omukulu David Ssimbwa, Ow’omutuba gwa Chwa, Omulangira Fredrick Walugembe, Omulangira David Namugala, Nnaalinya Getrude Tebattagwabwe (n’abolulyo abalala bangi ddala); eyali Katikkiro Dan Muliika, amyuka Katikkiro II, Owek. Mohammed Sekimpi Ssemambo; bamulekwa, Saava Prof. Fredrick Semazzi ne Naava Florence Namayanja Luyombya ne ba Kiweeweesi.

Ebigambo bingi ebayogerwa ku Naalinnya eyali awumudde era nga mwabo abayogera kwe kwaali; Fredrick Semazzi, kulwa bamulekwa, obubaka bw’omuko bwasomebwa muganda w’omuko Hannington Kasoma Zaake ate obw’omulangira David Ssimbwa, kulwa ab’enju ya Chwa, bwasomebwa Omulangira James Jjunju.

Obubaka bwa Katikkiro bwasomebwa amyuka Katikkiro ow’okubiri Owek. Mohammed Sekimpi Ssemambo. (butungiddwako e mabegga)

Omulangira James Wasajja (M.C) yeyakulemberamu enteekateeka eyo waggulu era abogezi bwebamaliriza olwo naasoma obubaka obuwandiike nga obusinga bwali buva mu balangira, banaava ne bakiweeweesi abaali eyo mu mawanga g’ebunayira.

Omukolo gw’okubikka akabugo

Omuteesiteesi (M.C) yategeezebwa abaali bakulembeddemu omukolo gw’okubikka akabugo, nti bbo baali bamaze okutuuka e Kasengejje emikolo gyegyali gigenda okukolebwa era ne bamusaba ategeeze oyo eyali alondeddwa okukolebwako emikolo egyo.  Omuteesiteesi yasisiinkana omusika ku saawa 4 ez’okumakya era namutegeeza ebyali bimutumiddwa. Omusika yebaza omuteesiteesi olw’obubaka obwo era nebakaanya nti tebaali baakutegeeza bantu bangi kubaga omukolo gwali gwakyaama.

Okusaba nga kuwedde, omuteesiteesi yategeeza aba A-Plus Funeral Service wa emikolo egyiddako gye gyali egy’okuba era nanoonya n’omusika amutegeeze nti aba Funeral Service baali basimbudde okwolekera e Kasengejje. Omuteesiteesi kyamubuukako bweyasanga omusika nabambejja abalala nga ye ateekateeka kugenda Kasubi. Omusika yategeeza omuteesiteesi nti yye (omusika) simwetegefu kugenda eyo munsiko! Omuteesiteesi yategeeza Omulangira Omukulu David Ssimbwa ebituusewo.  Omulangira yayita omusika namusaba agende e Kasengejje akole emikolo oba yye (Omulangira) yali wakulonda omumbejja omulala yenna anaasobola okugenda e Kasengejje!

E Kasengejje

Ng’omubiri gwa Naalinnya gutuusiddwa e Kasengejje, (ku saawa musanvu) enteekateeka zonna zaali ziwedde era ng’abaali ab’okukulemberamu emikolo egyo baali beetegese dda. Baatuubuza omusika era netubategeeza nti yali mu kubo ng’ajja.

Nga wayiseewo esaawa namba n’ekitundu, Omutaka Kasujju Lubinga yakubira Omulangira David Ssimbwa  namutegeeza embeera bweyali era Omulangira nasalawo bwati;

“Bwekiba nga Omumbejja Zalwango (muwala w’omulangira Mawanda e Saalama)eyali alondeddwa okubikka akabugo agaanyi okumukolako emikolo, Kasujju Lubinga agende mu maaso abikkise Omumbejja Stella Serwamutanda Ndagire (Omwana wa Sir. Edward Muteesa II) eyali ow’okusikira omusaayi.”

Ku saawa 3:00 ez’emisana, Kasujju Lubinga ngayambibwako Naalinya w’e Bugembegembe, Lubuga w’e Kyebando n’eyali Lubuga wa Naalinya Nakabiri ne bateekateeka Omumbejja Stella Ndagire era nabikka akabugo ne lubuga we Omumbejja Milly Ndagire. Oluvanyuma omubiri gwa Naalinya eyali awumudde gwaatwalibwa e Kasubi okuterekebwa.

Ku Masiro e Kasubi

Ng’omubiri gwa Naalinnya gutuusiddwa e Kasubi mu masiro, Omulangira omukulu ow’embuga eyo, David Walugembe Bamweyana yayogera eri abakungubazi era yagamba bwaati;

Bannaalinnya, abalangira nabambejja, basaava ne banaava wamu ne bakiweeweesi; abako n’abemikwano , bakungubazi banange.

Embuga ya Jjajjaffe Muteesa I nate evuddemu Omuzzukulu atasobola kuzzikawo! Tuyenjedde! Ebbanga eritabade lyewala twakava mu maziga ng’omuzzukulu omulala, eyali Naalinnya wa Ssekabaka Muteesa II, Naalinnya Elizabeth Nakabiri aseredde.

Kuno kusomozebwa kwa mannyi nnyo eri abazzukulu ffenna abava mu mbuga eno era mbasasira olw’eddibu lino eritasobola kuddizibwawo. Ntuusa okusaba kwange eri abazzukulu b’embuga eno okumanya nti kano ke kaseera kenyini wetwetagira okwegatta, twehhaange okusoomozebwa okutwolokedde.

Bulijjo ebitulemerera tubyolekeza mu bakadde baffe bano abatuvuddeko. Kati ke kaseera tukolere wamu, tusobole okugonjola ebyo byonna ebiri mu bazzukulu b’embuga eno.

Weraba, Weraba

Otambule mirembe

Weraba, weraba

Omutonzi abeere naawe,

Ssenga.

Oluvannyuma lw’okwogera okwo, Bishop Luwalira okuva e Namirembe yakulembera okusaba okusembayo era Naalinnya naterekebwa mu nju omwaterekebwa gweyasikira, Naalinya Dina Kigga.

Okwaabya Olumbe

Ekijjulo kyagabibwa mu masiro e Kasubi era abamu ku bannalinnya, abalangira nabambejja basigala e Kasubi ate abalala ne bolekera e Kasengejje ewaali Naalinya omuggya.

Enkeera Kasujju Lubinga yakola omukolo ogw’okusumika Naalinya era Naalinnya nagabula ekijjulo kye ekyasooka mu maka ga bbawe (Kamaanya) e Kasengejje. Naalinya Stella Ndagire yakola emikolo emirala egy’obuwangwa ngabweyalambikibwa abakuliramu enteekateeka ezo.

Ku lunaku olwokusatu, Naalinnya yatuuka mu Lubiri e Banda ng’eyo yasanga Beene amuddemu oluvanyuma lw’emikolo gyamatikkira egyali ku lw’okubiri e Sentema, mu Busiro. Wabula yawereza obubaka obuyozaayoza Naalinnya Stella Ndagire ng’abuyisa mu muwandiisi we ow’ekyaama.

Naalinnya oluvannyuma yasiibula bakadde omwali Omumbejja (Sengaawe) Mugale Kisingiri , N’omulangira (Kitaawe) David Ssimbwa, olwo nayolekera okudda mu America gyabeera. Yaleeka eteeseza ne ba mulekwa okukola emikolo ey’okubuko amangu ddala ng’embeera y’okungubaga ewedde.

OKWEBAZA

Tutuusa okwebaza kwaffe eri abasawo abakoze kyonna ekisoboka okukwatirira obulamu bwa mukadde waffe. Twebazaamu ak’ensusso, Dr.Ephrahim Batambuze (Nakasero hospital) olwobukugu n’omukwano by’alaze mu kujjanjaba mukadde waffe

Twebaza n’abasawo abalala b’akoze nabo omulimu guno omuli, Dr. Sulaiman Lubega (heart Institute), Dr Kasule (Mirembe Medical Centre) ne Dr Turitwinka.

Twongera okwebaza Bishop Grivas Musisi Ssaalongo abadde omusumba wa Nnaalinya mu kkanisa ya ‘Prayer Palace’ eyasobola n’okujjanga n’amusabira mu makaage mu biseera weyalemererwanga okugenda mu kkanisa.

Twebaza ak’ensusso Omuzzukulu Halima Nassuuna olwokujjanjaba mukadde waffe ebbanga ly’obulwadde lyonna.

Katutwale omukisa guno okwebaza ennyo, ennyo President Yoweri Kaguta Museveni olwomukwano ogwannamaddala gw’abadde nagwo olwobutalekereranga Nnaalinya.

Tumwebaza olwobutalekereranga Nnaalinya mu biseera byonna ebyobulwadde. Omukama amuddizeewo

Tusembyayo buli muntu akoze ekisoboka okulaba nga mukadde waffe awerekerwa mu kitiibwa mu lugendo lwe luno olusembeyo.

Advertisements

One response to “Naalinya Edisa Nabweteme.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s