Abalangira Neba Naalinnya ba bulabe!

Abalangira Nebanalinnya Ba Mulabe Oba Ba Buganda?

Ku bizibu Buganda byerimu, abantu bano tuyinza okwetaaga okubeyambula. Abaganda bafa bbo bano abalangirra nebannalinnya bali mu kukayanira bya kufuna? Babadde basubira ki? Nti Buganda enekaaba nga bbo bokka bebaseka nokwesiima? Ffe twetaaga Kabaka waffe yekka, oba tebagala kubeera mu biti byaabwe nga balwanirira eddembe lya Buganda yonna naffe tujja kubayisa nga abalabe ba Buganda.Ki ekitabudde Abalangira?
Bya Musasi waffe
Sunday, 07 March 2010
Omusango Kabaka gwe yawawaabira Gavumenti okwewang’amya ku ttaka ly’e Kigo era ng’ayagala emusasule obuwumbi 18 n’obukadde 795, gulabise okukaluba Omulangira David Ssimbwa ne Nnaalinya Edith Nabweteme bwe basabye kkooti baguyingizibwemu kuba bakwatibwako ng’abaana ba Ssekabaka Daudi Chwa.Kino kizze mu kiseera Gavumenti w’ebadde etwaliddeyo okwewozaako kwayo mu kkooti ku nsonga eno ng’egamba nti ettaka eryo (Kigo) eribaddeko ebbanga ddene nga tewali bbaluwa yonna egiragira kulivaako ekiraga nti Kabaka yagikkiriza okulibeerako n’olwekyo tebalina kumuwa ssente z’asaba.Omuntu yeebuuza nti mu kiseera kino olulyo Olulangira we lwandibeeredde obumu ate kiki ekituusizza Omulangira Ssimbwa ne Nnaalinya ku lwa bannaabwe abalala nga bwe kyalagiddwa mu kusaba kwabwe eri kkooti okwekiika mu musango Kabaka gwe yawawaabira gavumenti?

Ensonga z’obutakkaanya mu lulyo Olulangira zaasinga kweyoleka mu biseera by’amatikkira ga Kabaka mu 1993 bwe waavaayo amaloboozi mu lulyo Olulangira agaali gagamba nti waaliwo abalangira abaali abatuufu okulya eng’oma.

Ensonga zino zaamulungulwa abataka abamanyi ensonga abannyonnyola nti Mutebi yali taliiko kabuuza kuba bwe yabikka akabugo ku njole ya Ssekabaka Muteesa e Bamunaanika.

Okulonda kwa bonna okwa 1996 bwe kwatuuka, abalangira beetemamu, Nnaalinya Ndagire bwe yeegatta n’abalangira Ssekamaanya ne Ssimbwa mu kiseera kino eyali omubaka wa Uganda ebweru ne bakubira Museveni kampeyini.

Mu kiseera kye kimu, abakungu abamu abaakulemberwa Duncan Kafeero ne Robert Ssebunya (mu kiseera kino omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda) baali bavuddeyo ne balaga nti bawagira Dr. Paul Kawanga Semogerere owa DP nti era ne Mmengo gwe yalinga gw’eri emabega.

Kyokka Mmengo yavaayo n’eraga nti teyalina gw’ewagira (ku Semogerere ne Museveni).

Okuva olwo, buli nsonga ebaddewo wakati wa Mmengo ne gavumenti, abalangira (Ssimbwa ne banne) babeera ku ludda lwa gavumenti.

Waliwo ensonga nnyingi ezitagonjoolwanga mu lulyo Olulangira:

Okugeza, oludda lwa Banakabiri ne Ssimbwa bagamba bandibadde bateekebwako omutemwa okubalabirira okuva e Mmengo.
Ekirala nti bandibadde n’eddoboozi ku buli kisalibwawo ku Bwakabaka.

Ekyokusatu balowooza nti Kabaka yandibadde avunaanyizibwa ku ttaka lyokka erya mayiro 350 ery’Obwakabaka, eddala lyonna bandibadde baliwoozaako.

Omulangira ssimbwa ne bannaalinnya bagamba nti ettaka okuli ekkomera ly’ekigo lyali lya kitaabwe Daudi Chwa nti mmengo ekyapa ky’ettaka yakifuna mu bukyamu era ng’abaana ba Chwa tebasobola kukkiriza kulekebwa bbali ku nsonga zikwata ku ttaka lino.

Mu kiseera kino nga Buganda eri mu mbeera eteri nnyangu omuntu yandisuubidde ab’olulyo olulangira okuba obumu kyokka kino si bwekiri. Okwebuuza kuli nti kiki ddala ekitabudde Abalangira ne bannalinnya.

Bannaalinnya ba Buganda gye buvuddeko baalinya mu kyoto nga bawakanya ekitongole kya Buganda Land Board okutunda ettaka lyabwe ery’obwannannyini kitaabwe Ssekabaka Daudi Chwa lye yabalekera ate n’obwakabaka ne bubasuulawo kati beerya enkuta.

Baategeeza Bukedde nti, ettaka lyabwe Buganda land Board yalezza ku Block 273 Poloti (1-Masajja-Sserinnyabbi) ery’oku Piida e Namasuba ku lw’e Ntebe nti lyakusibwa ekyapa ne litundibwa nga bo (Bannalinnya) tebategeezeddwako.

Bannalinnya bategeeza nti ettaka lyabwe lyali ddene nga ligatta ebyalo: Najjanankumbi, Masajja, Lufuka, Namasuba, Zzana, Ndejje, Busaabala, Kibira Zooni, Kyamula, Salaama, Munyonyo, Buziga ku no nga kwogatta n’erye Kigo n’ebyalo ebirala lyonna balyezza ne balitunda, so ng’akatundu akabadde kasigaddewo ku piida nako baakatunze.

Bannalinnya era baategeeza Bukedde nti baasisinkana Kabaka mu lukiiko olwetabibwamu Bannalinnya , Abambejja n’Abalangira bokka mu Twekobe nga June, 27, 2009 ne bamubuulira ebibaluma omuli ettaka lyabwe ery’obwannannyini kitaabwe Chwa lye yabalekera. Ku lunaku olwo Ssaabasajja yabazzaamu amaanyi n’abagamba nti, yateekawo olukiiko lwa Buganda Land Board okukuuma n’okulabirira ettaka lyonna erya Buganda sso si kulitunda.

Era yasaba abaana ba Chwa bateekewo akakiiko kaddemu kasengejje ebintu gavumenti bye yazza.
Baagasseeko nti Mengo terina kyebalabiriramu, obulwadde bubalumira mu mayumba nga tebalina bujjanjabi bwonna.
Wabula ku nsonga eyo, Katikkiro J.B Walusimbi yasaba bannalinnya okuleeta bwino akwata ku ttaka eryo mu ofiisi ye amutunuulire ageraageranye alabe ani nnannyini ttaka omutuufu.

Ye Minisita avunaanyizibwa ku ttaka n’ebizimbe e Mmengo Kiyimba Kaggwa gye buvuddeko yagamba nti waliwo abantu ababuuzaabuza Bannaalinya ba Ssekabaka Daudi Chwa ku nsonga z’ettaka.

Agattako nti waliwo abantu abalina ebigendererwa ebyabwe abapikiriza Bannaalinya okutwala ensonga z’ettaka mu kkooti.
Okunoonyereza kwe yakola ku ttaka lyonna kwazuula nti ettaka lino teryali lya Ssakabaka Daudi Chwa ng’omuntu wabula lya Bwakabaka.

Minisita Kaggwa era agamba nti ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lyonna gyebiri mu kitongole ky’eby’ettaka mu ggwanga ng’oyo alimu akakunkuna wa ddembe okugendayo abyetegereze era nti ofiisi ye ekyali nzigule eri Bannaliinya ayongere okubatangaaza ku nsonga z’ettaka.

Wabula ye Omulangira ssimbwa era yeemulugunyiza ku Mmengo obutavaayo kutegeeza Buganda mbeera gy’alimu ey’obulwadde obumumazizza ku kitanda e Buyindi emyezi munaana. Era yeemulugunya olwa leediyo ya CBS okumuvuma, nga Mmengo esirise.

Abaana b’engoma era beemulugunya ku bakungu ba Kabaka abakola mu kitongole kya Buganda land Board abazze mu kwekkusa bokka era bangi bagaggawadde olw’okutunda ettaka lya kitaabwe kyokka bbo nga beerya nkuta.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s